Search form

Olubereberye 1

Ebyafaayo ebyasooka

(1:1—11:26)

Obutonzi (1:1—2:3)

1Ku lubereberye Katonda yatonda eggulu n'ensi.- 2Ensi yali njereere nga yeetabuddetabudde; n'ekizikiza nga kibisse kungulu ku buziba, n'Omwoyo gwa Katonda nga guseeyeeya ku ngulu ku mazzi.- 3Katonda n'ayogera nti, “Wabeewo ekitangaala.” Ne wabaawo ekitangaala.- 4Katonda n'alaba ng'ekitangaala kyali kirungi; ne Katonda n'ayawula ekitangaala ku kizikiza. 5Katonda ekitangaala n'akiyita emisana, n'ekizikiza n'akiyita ekiro. Ne buba akawungeezi, ne buba enkya, olwo lwe lunaku olw'olubereberye.

6Katonda n'ayogera nti, “Wabeewo ebbanga wakati mu mazzi, lyawule amazzi n'amazzi.”- 7Katonda n'assaawo ebbanga n'ayawula amazzi agali wansi w'ebbanga n'amazzi agali waggulu mu bbanga; era ne kiba bwe kityo. 8Katonda ebbanga n'aliyita eggulu. Ne buba akawungeezi, ne buba enkya, olwo lwe lunaku olw'okubiri.

9Katonda n'ayogera nti, “Amazzi agali wansi w'eggulu gakuŋŋaanire mu kifo kimu, olukalu lulabike.” Era ne kiba bwe kityo.- 10Katonda olukalu n'aluyita ensi, n'ekkuŋŋaaniro ly'amazzi n'aliyita ennyanja. Katonda n'alaba nga birungi. 11Katonda n'ayogera nti, “Ensi emere ebimera: ebimera ebizaala ensigo, n'emiti egy'ebibala ebya buli ngeri ku nsi egizaala ebibala ebirimu ensigo.” Era ne kiba bwe kityo.- 12Ensi n'emera ebimera, ebimera ebizaala ensigo eza buli ngeri, n'emiti egya buli ngeri egizaala ebibala ebirimu ensigo. Katonda n'alaba nga kyali kirungi. 13Ne buba akawungeezi, ne buba enkya, olwo lwe lunaku olw'okusatu.

14Katonda n'ayogera nti, “Wabeewo ebyaka mu bbanga ery'eggulu, byawulenga emisana n'ekiro, era bireteewo obubonero n'ebiro n'ennaku n'emyaka; 15era bibe ebyaka mu bbanga ery'eggulu, okuwa ekitangaala ku nsi.” Era ne kiba bwe kityo. 16Katonda n'akola ebyaka bibiri ebinene; ekyaka ekisinga obunene okufuganga emisana, n'ekyaka ekitono okufuganga ekiro, era n'akola n'emmunyeenye.- 17Katonda n'abiteeka mu bbanga ery'eggulu byakenga ku nsi, 18bifugenga emisana n'ekiro, era byawulenga ekitangaala n'ekizikiza. Katonda n'alaba nga kyali kirungi.- 19Ne buba akawungeezi, ne buba enkya, olwo lwe lunaku olwokuna.

20Katonda n'ayogera nti, “Amazzi gazaale ebitonde ebiramu bingi nnyo, era n'ebinyonyi bibuuke waggulu ku nsi mu bbanga.” 21Katonda n'atonda balukwata abanene, na buli kitonde ekiramu ekyewalula, amazzi kye gaazaala mu ngeri zaakyo, na buli ekibuuka ekirina ebyoya mu ngeri yaakyo. Katonda n'alaba nga kyali kirungi.- 22Katonda n'abiwa omukisa n'ayogera nti, “Mweyongere mwale, mujjuze amazzi ag'omu nnyanja, era n'ebinyonyi byeyongere mu nsi.” 23Ne buba akawungeezi, ne buba enkya, olwo lwe lunaku olw'okutaano.

24Katonda n'ayogera nti, “Ensi ereete ebirina obulamu ebya buli ngeri: ente n'ebyewalula, n'ensolo ez'omu nsiko eza buli ngeri.” Era ne kiba bwe kityo. 25Katonda n'akola ensolo ez'omu nsiko eza buli ngeri, n'ente eza buli ngeri, na buli ekyewalula ku nsi ekya buli ngeri. Katonda n'alaba nga kyali kirungi. 26Awo Katonda n'ayogera nti, “Tukole omuntu mu kifaananyi kyaffe, mu ngeri yaffe, afugenga eby'omu nnyanja n'ebinyonyi eby'omu bbanga, n'ente, n'ensolo ez'omu nsiko, na buli ekyewalula ku nsi.”- 27Bw'atyo Katonda n'atonda omuntu mu kifaananyi kye, mu kifaananyi kya Katonda mwe yabatondera; omusajja n'omukazi bwe yabatonda.-

28Katonda n'abawa omukisa, era Katonda n'abagamba nti, “Mweyongerenga mwalenga, mujjuze ensi mugifuge; mufugenga eby'omu nnyanja n'ebinyonyi eby'omu bbanga, na buli ekirina obulamu ekitambula ku nsi.”- 29Katonda n'ayogera nti, “Laba, mbawadde buli kimera eky'ensigo ekiri ku nsi, na buli muti ogubala ekibala ekirimu ensigo, binaabanga mmere yammwe.- 30N'eri buli nsolo ey'oku nsi, na buli kinyonyi eky'omu bbanga, na buli ekyewalula ku nsi, ekirimu omukka omulamu, mbiwadde buli kimera okuba emmere.” Era ne kiba bwe kityo.- 31Katonda n'alaba buli kye yali akoze; era, laba, nga kyali kirungi nnyo. Ne buba akawungeezi, ne buba enkya, olwo lwe lunaku olw'omukaaga.-

Revised Luganda Bible

© Bible Society of Uganda

More Info | Version Index